Sente obukadde 40 muzizzeyo; Ababaka ba NUP balagiddwa bakama baabwe e Kamwokya

ABAKULEMBEZE be kibiina kya National Unity Platform balagidde ababaka abali ku kkaadi ye kibiina kyabwe okuzzaayo ensimbi obukadde 40 ezigambibwa okuba nti zaawereddwa ababaka bonna nga tezirina kigendererwa kilambulukufu.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ku lw’okubiri ne kiwerezebwa buli mubaka ali ku kkaadi ya NUP kyalaze nti abakulembeze okuli Pulezidenti Robert Kyagulanyi Sentamu wamu n’abakulira ekibiina abalala tebaabadde basanyufu eri ababaka okukwata ensimbi ezitali mu makubo malambulukufu.

Kino kyadiridde ensonga ezesigika mu palimenti okulaga nti buli Mubaka yawereddwa obukadde bwe nsimbi za Uganda obukadde 40 nga zino teziri ku nsimbi ezirina okubasasulwa era nga ab’oludda oluvuganya kigambibwa nti obwedda baliko ekikomera ekimu mu bitundu bye Kololo mu Kampala kye b’ebbika ne bazifuna.

Kyategerekese nti obwedda buli azifuna yatemya ku munne nti “Jjangu eno kibuuse” era ne bajja ne bafuna kavu wakati mu kwekweka kweka.

Kyategerekese nti era ne bannaNRM obwedda ensimbi bazifunira ku Palimenti mu offiisi ya Nampala wa Gavumenti era nga kigambibwa nti kaali keetalo ka babaka ku lunaku lwe baazifuna.

Kino kyanyizizza obukulembeze bwe Kamwokya nga abakulu bagamba nti mu kiseera kino nga buli kimu mu Ggwanga tekitambula, ebbeyi ye bintu eri waggulu, emisolo gitta bannaUganda tebasobola kutunula butunuzi nga ababaka baabwe ate beefunyiridde okunyunyunta bannaNsi.

Ensonda era zaalaze nti ensimbi zino zawereddwayo okusobola okukugira ababaka obutayimusa maloboozi naddala ku nsimbi ezizze nga zibulira mu ngalo za bakulu mu Gavumenti nga bwe kibadde mu ntuula ez’enjawulo mu Palimenti ekiletedde abantu ba bulijjo okumanya buli kintu nga bifulumira mu mawulire.

 

The post Sente obukadde 40 muzizzeyo; Ababaka ba NUP balagiddwa bakama baabwe e Kamwokya appeared first on Watchdog Uganda.

Tags :